Paak ya Taxi eye Bwaise eguddwawo era nga eno erimu sitegi ezenjawulo okuli ezikwata oluguudo lwa Bombo nezigenda mu mambuka ge gwanga saak eze Masaka.
Kino kigenda kuyanba okukendeeza omugoteko mu Masekati ga Kampala kuba omutu ali gamba Kawempe oba ku Kalererwe nga agenda Masaka tekikyamwetagisa ku genda mukibuga wakati okufuna mmotoke ezimutwala ewabwe.
Paak eno etude ku bugazi bwa yiika munana nekitundu era nga yekyasinga obugazi mu Kampala eriko ekitundu Bus wezisimba saako Loole era eriko namadduka nobuyumba okukyamirwamu bwamirundi ebiri nemirayago esatu.
Omu kubananyini paaka eno Rt. Col. Bogere yagambye nti amaze emyaka egyisoba mwasatu nga ateekateeka ekifo kino oluvanyuma lwa gavument okusaba abantu abasobola okuyingira mu mulimu nga guno besowoleyo batandike.
“ Ekifo kino Minisitule yebyentabula yakiriza kifuke paaka oluvanyuma lw’abakungu okuli ne ba Yinginiya okukirambula nebakakasa nti kisobola bulungi okukola omulimu gwa Paaka era abakoleramu saako abasabaze tebasobola kufuniramu bulabe.’’ Col. Bogere bweyategeezezza.
Mungeri y’emu yasabye abakulembeze ba paak okuba abakozi sso sikudda mu kwogera bwogezi era bakwate bulungi abantu bebakulembera okusobola ekwewala obukuubagano nentalo.
Ye RCC wa Kawempe Sulaiman Walugembe yasabye abaddukanya paaka eno okuwa abavubuka bekitundu emirimu ekintu kyeyagambye nti kigenda kukendeeza ne kubumenyi bwamateeka.
Yakuttidde olukiiko olwalondeddwa okuddukanya paak okulaba nga tewali Taxi yonna eddamu kutikira basabaze ku luguudo kuba kino kibadde kireeta akavuyo saako okuteka eby’okwerinda mubuzibu naddala awo ku taawo mubudde obwakawungeeza.
Bya George Bukenya