EYALI NANYINI WOTEERA YA AFRICANA, BMK AJUKIDDWA

Omumyuka wa Katikiiro owokubiri Owek. Robert Wagwa Nsibirwa akubiriza  abaantu ba ssaabasajja okubeera abawerezza eri bannababwe yadde nga tebalina kifo kyonna ekyobuvunanyiziwe kyebaba balondeddwamu.

Oweki. Nsibirwa okukubiriza kuno yakukoledde kumukolo gw’okujukira omugenzi Bulayimu Muwanga Kibirige (BMK) eyali nanyini woteeri ya Africana gweyagambye nti yali muwereza w’abantu bonna yadde yaffa nga talina kifo kyonna mu ddiini y’oBusiramu yagula ettaka awazikibwa abaantu bonna abatalina biggya.

Era yategeezezza abaantu abetabye ku mukolo guno ogwabadde ku woteeyi ye yenyini nti mungezi yali mwetowaze nnyo, omuwereza era ebikolwa bye abaantu bandibadde babirabirako nebafunamu ekyokuyiga gamba nga obutegulumiza wadde Omuntu aba wabitiibwa oba wattuttumu nnyo wabula nyandibadde akola obuwereza nga BMK yadde talina kifo kyonna kyabuvunanyizibwa.

“ Bulayimi Muwanga Kibirige gwetujukira kati yaleka omukululo gwamaanyi nga yali musomesa, asikiriza abalala okubaako kyebakola at nga muweereza wabuli omu era omusuubuzi at nga muweereza omwesimbu era eyettanira okubeera n’okukolagana n’abantu abalala.’’ Okwek. Nsibirwa bweyategeezezza.

Yayongeddeko nti abaantu bandibadde bantu bade natwala obulamu bwa BMK nga ekyokulabirako era nebettanira nnyo okukolagana n’abalala okusinga okwagala ennyo ssente nga abensagi zino kyebakulembeza. Yagambye nti enkolagana n’abantu Kintu kikulu nnyo era kyamuwendo munene nnyo.

 Suzan Muhwezi nga ono yemukyala wa minister webyobutebenkevu mu ggwanga era nga atuula ku Lukiiko olugatta bannanyini woteeri mu ggwanga yagambye nti omugenzi BMK yali ayagala nnyo eby’obulambuzi naddala woteeri nga kino kyamuwaliriza okutandikawo ekibiina omwegattira bannanyini mawoteeri mu ggwanga.

Muhwezi era yategeezezza nti omugenzi yali yalwana nnyo okulaba nga omulimu gwa woteeri gusinga kutekebwamu ensimbi era nga guddukaanyizibwa bannaYuganda era yali musaale nnyo okulaba nga tegujibwako musolo okutuusa nga gukuze negutandika okukola amagoba gavumenti nemuwuliriza.

“ Omugezi BMK nze yeyanddeta mu bya woteeri kuba byeyatandika ekibiina omwegattira bannanyini mawoteeri nange yampitta yadde nali sirina bumanyirivu kuba nze nali nakagutandika era nga nina woteeri emu yokka kyoka teyannyoma era kulukiiko olwasookeraddala olw’abantu omwenda twaliko abakyala babiri nze ne Kiyimba nanyinin woteeri ya Brovad  esangibwa e Masaka era bamemba bano yabalonda okuva mubitunddu bye ggwanga eby’enjawulo.’’ Muhwezi bweyagambye.

Yayongeddeko nti Omugenzi era yali ayagala nnyo okusitula abavubuka n’abakyala saako enkulakulana mu ggwanga okutwalira awamu gamba nga enguudo enungi , ebizimbe bya woteeri era abadde bweyali tanava mubulamu byensi enno yali buli kiseera ajukiza gavumenti okulaba nga eteeka ssente mukukola enguudo zeby’obulambuzi.

Muhwezi era yagambye nit BMK yali teyelowoozako yekka era yagabananga nabantu abalala amagezi geyalina mu kuzimba n’okuddukanya emirimu gya woteeri era nti yababulira nga nengeri yokukolamu eby’obusuubusi yadde mubya woteeri yali avuganya nabo. Mungeri yemu yajukiza abatwala ekitongole kya KCCA nti Palamenti yayisa ekiteeso oluguudo lwa Wampewo lukyusibwe erinnya luyitibwe BMK.

Eyaliko minisita webye ttaka n’amayumba Daudi Migereko omugenzi yamwogeddeko nga  eyali omukenkufu muby’obusuubuzi mu ggwanga era nga akola emirimu gye yali teyesigama ku ggwanga ly’amuntu gwakolagana naye yadde obuyigirizebwe nga buli muntu yakolagana naye nga bwali mumbeeraze.

Yagambye nti omugenzi yali muvumu nnyo mubuli kyeyali akola nga awali obuzibu ye alabawo omukisa nti ekyokulabirako, abaantu be Moroto baageza okumulemesa okuzimba ettabi ya woteera ya Africana mu kifo kyeyali aguuze mukibuga kyaayo nga beekwasa nti ekifo kyabakatonda baabwe naye teyabawuliriza nagenda mu maaso n’okuzimba ate e Lusaka,  Zambia abakulembeze baayo nabo baagezzako okumulemesa nga bamuma empapaula ezaali zetagiza naye yalemerako okutuusa lweyazifuna era nazimba woteeri.

Isaak Ngobya eyakola nga n’omugenzi BMK yagambye nti omugeezi yali teyejalabya nga abaantu abalala abalina ssente ennyigi ennyo nti yali awa ssente ekitiibwa yawadde ekyokulabirako nti lumu yali alina ssente zamuwadde mukuzibala nezibulako olukumi naye yamugamba nti mwana olukumi olwo olina okulunnonya gyewaluttadde yadde ziri zaali nyingio nnyo.

Ngobya era yategeezezza nti omugeezi yali mwesimbu nnyo at nga akuuma ekigambo kye, nga abeera nenteekateeka yabuli lunaku, eyemyaka ebiri neyemyaka ekumi. Nti era okubeera omwesimbu kyamuyamba kubanga lumu yagenda e Hongkongo okusuubula ebyamaguzi wabula nebamuffera nebamubbako ssente naye yabulira abaali bamusuubuza ebintu ekyali kimutuuseko era nebamuwa ebintu nga tasasudde yadde omunwe gwenusu oluvanyuma bweyakomawo nabasindikira ssente.

Omugezi BMK yalin woteeri mubitunddu bye ggwanga ebiwerako gamba nga Arua, Pakwaki, saako e Zanziba ne Zambia era yeyagula saako okulabirira pikipiki ezikulembera mmotoka za Kabaka bwaba alina wagenda ku mukolo.

By George Bukenya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *