Katikiiro Charles peter Mayiga nga asoma akatabo omuwanika mweyatadde Bajeti
Obwakabaka bwa Buganda buyisiza embalirira y’omwaka gwebyensimbi 2023/ 2024 nga ya buwumbi obusoba 209 wakati w’omulamwa “ Tewali Kubongootta’’ era yasomeddwa omumyuka wakatkiira asooka era nga yemuwanika Owek. Robert Wagwansibirwa.
Owek.Wagwa mukusoma embalirira eno yategeezezza nti omwaka gw’ebyensimbi ogujja esira ligenda kutekebwa nnyo mu kutumbula emby’enjigiriza eby’obulamu saako okusinga ensimbi naddala okutekawo amakoleero agongera omutindo ku mwanyi nebirime ebirala.
Yagambye nti mumbalirira eno, Obwakabaka busubira okuyingiza obuwumbi bw’ensimbi 209 n’obukadde 410 era busubira okusasanya obuwumbi 209 n’obukadde 126 nga kino kiraga into ssente ezisubirwa okuyingizibwa zigenda kusinga ezigenda okusasanyizibwa oufananako n’omwaka gw’ebyensimbi oguwedde nga obuwumbi 174 bwebwayingizibwa ate 157 bwebwasasanyizibwa.
Omuwanika era yategeezezza nti ssente ezisinga zisubirwa kugyibwa muby’obulimi gamba emwanyi terimba Ltd obwegasi saako okukolagana n’ebitongole, enyumba ezizimbiddwa Obwakabaka nemumatendekera agenjawulo saako okuva govumenti eyawakati ez’obupangisa.
Mumbalirira eno era Obwakabaka busuubira okumaliriza ebizimbe by’amalwaliro mu masaza okuli erya Ssingo, Buddu ne Kyagwe saako okumaliriza ebizimbe bye ssomero lya Lubiri High nekyetendekero ly’ebyemikono.
Akulira Egwanika lya Buganda Owek. Robert Wagwa Nsibirwa nga asoma Bajeti e Mengo
Mukawefube w’okutumula embeera z’abantu, Obwakabaka buyisiza ssente z’okugula ekyuuma ekikebera obujimu bwettaka nga kino kigenda kusobozesa okumanya ekirime ekisobola okulimibwa mubitundu bwa Buganda ebyenjawulo saakom okugula Tulakita okuyamba kwabo abalina webalimira awaneneko era kigenda kuzimbira abantu abali obubi ennyo amayumba.
Wabula omuwanika era yategeezezza nti omwaka gw’ebyensimbi oguweddeko gavumenti yawakati yasasula ssente z’obupangisa obuwumbi 9.5 kwezo 500 ezigyibanjibwa nti kino kyenyamiza kubanga ssente zino ziyisibwa mumbalirira yayo naye ministry yensongo z’omundda mu ggwanga evunanyizibwa okusasula ssente zino tezituusa nti kirabika ekikola mubugenderevu okunafuya emirimum gy’obwakabaka nti naye eggwanika lya Buganda lingeda kusigala nga libanja buli kiseera.
Kamala byonna Owek. Charles Peter Mayiga eyasoose okwogera nga omuwanika tanaba kusoma mbalirira yategeezezza olukiiko nti amasiro ge Kasubi ganatera okugyibwako engalo wabula wakyaliwo ebikyetagiza okukola gamba nga okuzimba kabuyonjo ez’omulembe, okukola oluggya era yagambye nti ekisanyusa ekitogole kyensi yonna ekivunanyizibwa kuby’obulambuzi kyagye amasiro gano kulukala lw’ebifo by’obulambuzi ebiri mukatyagaba.
Era Katikiiro yasabye abaddukanya ekibuga kya Kampala okulaba nga bateeka akabonero kamasiro ge Kasubi kubintu gamba nga saako ekifannanyi kye nsolo gyebayita empala nti kino kigenda kuyambako okutumbula eby’obulambuzi mu Kampala kuba nekibuga kino ekikulu mu ggwanga kyatandikibwa bwakabaka bwa Buganda obutafananako okwawukana ku bibuga ebirala muggwanga ne mumawanga g’emirirwano.
Yasabye gavumenti yawakati okuteeka okuteeka mumbalirira yayo ssente ezinayambako okumaliiza amasiro. Era yalaze ssente ezakasasanyizibwa nga zino zisoba mu buwumbi 10 era nga ezisinga zivudde mu mawanga gannamikago okuli erya Japan(obuwumbi 2.4), Norway (Obukadde 370), ekitongole ekivunanyizibwa kuby’obulambuzi munsi yonna (obukadde 370), gavumenti yawakati (obuwumbi 2.3)
saako obukadde 900 zeyakunganya okuva mubantu ba sekinomu nebitongole ebyenjawulo mu ggwanga nebweru walyo.
Katikiiro era yalaze obwenyamivu olwa Pulezidenti okulwawo okuwa okuteeka omukono kubiwandikom ebikakasa etendekero lya Muteesa I Royal University yadde nga akakiiko akavunanyizibwa kubyenjigiriza ebyawagulu kakiriza ekakasibwe era wano weyasabidde ababaka ba palamenti abava mubuganda okutunula munsonga eno.
Ye omubaka wa palamenti ekikirira ekitundu kya Nakaseke Central Allan Ssebunya yagambye nti mbaliria eno ewa essubi ddene eri obuganda era asubira egenda kuyambako okukendeza kubwavu obubadde bukutte ejembe.
Mungeri yemu yategeezezza nti nga omubaka ava mu bendobendo lya Buganda agenda kulaba nga ajukiza Pulezidenti Museveni okuwa Yunivasite ya Muteesa I empapula ezigyikakasa nga erimu kumatendekero gavumenti gekakasiza okubangula abaana be ggwanga
Bya George Bukenya.