Nga Palamenti ya Uganda eddamu leero okwetegereza etteeka erikwata ku mukwano ogwebikukuju, Banna’Uganda basaba etteeka liyisibwe era Pulezidenti alitekeko omukono litandike okukola.
Ssentebe wa Kasaato Zooni esangibwa mu muluka gwa Kisenyi I mu Divisoni ya Kampala Central Kiwana Nkoyoyo agamba nti okwagala nnyo ssente si kyekireese abantu okwetaba mu muzze gwokulya ebisiyaga wabula buno busiwuufu bwa mpiisa.
Yagambye nti kino kidayo ku bazadde okulaba nga bafuba okuteekateka abaana obulungi n’okubalaga obulabe obuli mu mizze nga gyino. Era yasabye abakulembeze be ddiini okwongera amanyi mu kubulira abantu obukulu bwokugoberera amateeka ga Katonda nokukolo ebyo byokka Katonda byatwagaza.
Eteeka eryisibwa palamenti lirimu ebibonerezo ebyenjawulo ebikakali nga omuntu yenna asingisiddwa omusango nga yetabye mubikolwa byomukwano ogwebikukuju omulamuzi asobola okusalira ekibonerezo kyokuwanikibwa ku kalaaba oba okusibwa obulamubwe bwonna.
Era eteeka livunana oyo yenna aba avudde mu mawanga gebweru singa yalabikako nga yenyigira mu mukwano ogwebikukuju bwaba aze wano nebwaba mugwira ekintu Pulezidenti kyawakanya era kano kekamu kubuwaayiro bwayagala bukyusibwemu nga omuntu bwaba omuze gwomukwano ogwebikukuju teyagukoleera wano abenga tavunanibwa okujako nga akwatiddwa mukikolwa wano.
Bya George Bukenya.
‘